Skip to content Skip to footer

Minisitule yéby’obulamu yakunonyereza ku muwendo gwábantu abalina obuzibu ku bwongo

Bya Prossy Kisakye,

Minisitule evunanyizibwa ku byobulamu mu ggwanga yakukola okunonyereza okw’eggwanga lyonna okumanya omuwendo gw’abantu abaliko obuzibu ku bwongo basobole okutekerwatekerwa obulungi mu biseera ebigya.

Kino kigidde mu kaseera ngomuwendo gwa bantu bano omutuufu tegumanyiddwa.

Dr Hafiswa Lukwata akolanga omumyuka wa kamisona avunanyizibwa ku bantu abaliko obuzibu ku bwongo mu minisitule eye byobulamu, agamba nti entekateeka eno erudewo kuba minisitule ebadde terina nsimbi nábakozi okubala abantu bano.

Ate ye akulira ekibiina kya Mental Health Uganda Derrick Mbuga Kizza, agambye nti ne bibalo bye balina okuva mu kitongole kya gavt ekivunanyizibwa kukubala ekya UBOS tebabyesiga.

 

Leave a comment

0.0/5