Skip to content Skip to footer

Abakozesa obugombe bwémotoka obubi balabuddwa

Bya Benjamin Jumbe,

Abakungu ba gavumenti abatyoboola ebiragiro byókunguudo naddala ku kweyambisa obubi obugombe balabuddwa.

Bino byogeddwa minisita avunanyizibwa ku nguudo n’entambula Gen Katumba Wamala oluvanyuma lwokwemulugunya ku bakungu ba gavt ne baminista nti bavuga bubi emotoka zabwe.

Mu kwogerako ne bannamawulire wakati mu kwetegekera ookukuza ssabiiti y’’ensi yonna ekwata ku bukuumi byókunguudo olumanyidwanga UN Global Road Safety Week, Katumba agambye nti yasisinkanye dda ssabapoliisi Martins Okoth Ochola nákulira ebyentambula yébidduka Lawrence Niwabiine okulongoosa ensonga yabakuba obugombe bwemotoka obubi mu makubo.

Niwabiine yali yalabula dda abemotoka ezobwannanyini abaloina obugombe ku motoka mu bukyamu okubugyako.

Leave a comment

0.0/5