Skip to content Skip to footer

Piki ya Ssentebe wa NRM e Luuka eboyeddwa

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu disitulikiti eyé Luuka eboye pikipiki ya NRM puelesidenti Museveni gyeyawa ssentebe wa LC3 gye buvudeko.

OC atwala ebyentambula mu kitundu kino   Silivia Babirye Nabiseke agambye nti piki eno yakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa okufuuza abagoba ba bodaboda abakola mu bumenyi bwa mateeka.

Nabiseke agambye nti piki Reg No UFE 241C yakwatibwa oluvanyuma lwokukizuula nti ya langi ya kyenvu ate nga logo ye kibiina kya NRM teriko.

Wabula eyabadde agivuga bweyabuuziddwa yategezeza nti ya ssentebe wa NRM owegombolola yé Namwendwa

Kati poliisi etandise okunonyereza lwaki logo ye kibiina yagibwa ku piki eno.

Leave a comment

0.0/5