Skip to content Skip to footer

Luzinda bamukutte lwa bbanja- Amaze n’asasula

Desire 2

Omuyimbi  Desire Luzinda kyaddaaki ayimbuddwa oluvanyuma lw’okukwatibwa olw’ebbanja

Luzinda akwatidwa bawanyondo ba Kkooti lwa bbanja lya bukadde 21

Ajjiddwa mu maka ge e Wandegeya wanyondo wa kkooti ategerekese nga Moses Mutesasira.

Luzinda ayimbuddwa oluvanyuma lw’okusasulako obukadde 10 ng’obusigadde 11 alina okubusasula obutasukka nga 30 omwezi ogujja.

Bino byonna biva ku nsimbi zeyewola ku mane lenda ategerekese nga Peter Mugwanya.

Ababiri bakkiriziganyizza mu maaso g’omuwandiisi wa kkooti Muhammed Kasakye.

Leave a comment

0.0/5