Skip to content Skip to footer

Omukuumi w’ekizimbe asse abadde yekalakaasa

 

Omukuumi ku kizimbe ky’omugagga John Bosco Muwonge ku Arua park akubye omusajja essasi n’amuttirawo.

Kino kiddiridde abapangisa ku kizimbe kino okwekalakaasa amakya galeero ku kizimbe kya Superior Complex nga bawakanya eky’okubongeza ensimbi z’obupangisa.

 

Abasuubuzi bano baasazewo okuggalawo amaduuka gaabwe mu kwekalakaasa oluvanyuma lw’omugagga Muwonge okubongeza ez’obupangisa n’ebitundu 100%.

 

Kaakati mu kavuvungano akabaddewo, omukuumi wa kampuni ya SGA akubye omu ku babadde bekalakssa ekyasi mu nsingo n’afiirawo.

Olumaze okutta omusajja ono, omukuumi yemuludde n’avulawo.

Aduumira poliisi ya CPS Joseph Bakaleke atuuseeko mu kifo kino n’avumirira byonna ebibaddewo.

Leave a comment

0.0/5