Abakozi ku kampuni entabuzi y’eddagala eya Abacus Parenteral Drugs Ltd balumbye poliisi ye Mbalala e Mukono nga baagala banaabwe abakwatiddwa olwokwediima bayimbulwe mangu.
Abakozi bano abasoba mu 100 bakedde kwekunganya kwolekera poliisi nga balumiriza nti banaabwe tebalina musango.
Abakozi bano baatadde wansi ebikola nga bagamba bakolera mu mbeera mbi sso nga bakama baabwe tebafuddeyo kujilongoosa.
Bano batutegezezza nti bafuna emitwalo 30 nokukka wansi nga buli mwaka babongeramu omutwalo gumu zebagamba nti ntono ddala.
Abakozi bano abatayagadde kwatuukirizibwa manya bategezezza nti abasinga bapangisa tebasobola kufuna nsimbi zakwekulakulanya kubanga ssente zigenda okubasasulwa nga zonna zigwera mu mabanja.
Abakozi bano era bemulugunya ku bakama baabwe abayindi nti bebabatendeka ku mirimu egimu wabula bbo nebasasulwa omusimbi omunji bbo nebaweebwa busamambiro.