Eddwaliro lye Mulago lifunye kamera ezimanyiddwa nga CCTV 11 nga zakussibwa mu waadi y’abakyala abazadde
Kino kyakuyamba okukendeeza omuze gw’okubba abaana ogweyongedde mu ddwaliro lino.
Kkampuni y’aba china eta ZTE y’egenda okussamu kkamera zino
Kamera zino ziwereddwaayo sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga agambye nti essanyu ly’omukyala kuzaala ng’ababbibbwaako abaana baba bajjiddwaako essanyu lyaabwe.
Akulira eddwaliro lino Dr. Baterana Byarugaba, agambye nti basanyufu nti baafunye kamera zino kubanga zakubayamba ku bazzi b’emisango mu ddwaliro