Liigi y’eggwanga eddamu okutojera olwaleero n’emipiira egyenjawulo.
Ku kisaawe kya St Mary’s e Kitende bananyinimu aba Vipers baakwabika ne Sadolin.
Bannamantameggwa ba liigi aba KCCA baagala kulaba nga baziba edibu ku bakulembedde aba Villa nga era baakukyaza aba Bright Stars ku kisaawe kya Phillip Omondi Stadium e Lugogo.
E Kakindu BUL FC yakuzanya aba URA .
SC Villa ekyakulembeddemu ekimeeza n’obubonero 47 wabula nga basinzaako KCCA abali mu kyokubiri emipiira 3.