Bya Ritah Kemigisa.
Abakulira etendekero elya Makerere baliko abaana 3 bebagobye nga bano babalanga kutekateeka kwekalakaasa nga bawakanya eky’okwongeza abaana ebisale.
Ebaluwa ewandiikiddwa amyuka akulira etendekero lino Prof Barnabas Nawangye era nga abaana okuli Daniel Kituno, Samuel Kigula ne Jobs Dhabona bebagobeddwa , nga kigambibwa nti bano babade batambuza obubaka ku mikutu gya social media , nga bayita abaana bajeeme okusasula ensimbi zino.
Kati ono asabye n’abakola ku by’okwerinda ku tendekero lino okutandika okuvunaana abaana bano.