Bya samuel Ssebuliba.
E Kenya embeera eyongedde okwononeka , nga kino kidiriidde kooti ensukulumu leero okulemwa okusalawo oba okulonda kwenkya kunabaayo oba nedda.
Amakya ga leero ssabalamuzi we gwanga lino David Maraga ategeezeza banna-kenya nti omusango guno tayinza kugutyemula, kubangga abalamuzi omusanvu abatuula ku kooti eno babade tebawera, ababiri tebalabiseko.
Kati ono abagembye nti waakulonda olunaku olulala kwabanaawera ensala ya kooti kumusango guno.
Wabula bono nga tebinabaawo omulamuzi wa kooti enkulu George Odunga yasoose kukawangamula nga abagenda okulondesa enkya bwebatali mu mateeka.
Newankubadde guli ko akakiiko k’ebyokulonda kakyalina olukusa olutegeka okulonda enkya.
