KYAGGWE
Bya Ivan Ssenabulya
Abaana abobuwala bakubiriizddwa obutekumiranga mabega, wabula bafeeyo okuzuula ebitone byabwe ebinabatuusa waggulu.
Buno bwebubadde obubaka bwa Fredrick Musoke Mulamba, omwami wa Ssabasajja owe gombolola ya ya Mituba 9 e Goma mu Kyaggwe, wakati mu kwetegekera empaka zaba-Nalulungi, mu ssaza lino ezolunnaku olwe nkya wali e Mukono.
Aavumiridde endowooza eziri mu bantu nti empaka nga zino ezana-Nalulungi bubeera buseegu.