Bya Kyeyune Moses .
Abamu ku babaka abavuganya gavumenti mu palamenti basazeewo okuzaayo ensimbi obukadde 29 ezibadde zibaweredwa okugenda beebuze ku balonzi ku nsonga y’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Bano nga bakulembedwamu Nampala w’oludda oluvuganya gavumenti Ibrahim Semujju Nganda bagambye nti eno nguzi ewedde emirimo gy’ebatayinza kukiriza.
Abamu kubabaka abalabidwako nga bakomyawo ansimbi zino kuliko owe Kyotera -Robinah Sentongo, ow’abavubuka Anna Adeke, owe Butambala Muwanga Kivumbi owe Busongora North William Nzoghu, Owe Soroti Angeline Osegge owe Rubaga North Moses Kasibante kko ne Semujju Nganda owe Kira municipality, Medard Lubega Segona owe Busiro n’owe Gulu MP Betty Achan.
Bano bagamba nti ensimbi zino tebaziyisa nga parliament kale nga eno eyinza okuba enguzi okuva ewa president