Bya Christopher Kisekka
Abakulembeze mu distrct ye Kiboga basabye nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa, okukola okwebuuza okwawamu ku nnongosereza mu ssemateeka.
Abakulembeze naddala abekibiina kya NRM bagmba nti okwebuuza okwomunda, tekujja kukola balina okudda wansi mu bantu babulijjo okubabuliira ensonga.
Nakabirwa, nga ye mubaka omukyala owa district ye Kiboga kitegezeddwa nti akola butaweera okutuuza enkiiko e Kiboga nemu Kampala okumatyiza abantu ku byokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Vincent Nkotanyi, omukiise wa Kiboga Town Council mu lukiiko lwa district agamba nti Nankabirwa yatuzizza olukiiko neba ssentebbe bamagombolola, ba kansala ba district nabalala wiiki ewedde, wabula agamba nti bino tebijja kukola.
Wabula bwatukiriddwa banaffe aba Daily Monitor, Nampala wa gavumenti Nankabirwa aganye okubaako kyayogera nategeeza nti alina olukiiko lwa NRM olwa Central Executive Committee lweyetabyemu.