Skip to content Skip to footer

Bazadde bomwana eyakubwa akakebe komukka ogubalagala balumiriza poliisi

Bya Shamim Nateebwa

Bazadde b’omuyizi Muzafaru Kamakya owemyaka 16, eyatemeddwako omukono oluvannyuma lw’okukubwa akakebe ka ttiyaggaasi e Makindye balumirizza poliisi ne gavumenti nti bebavunanyizibwa era balina okumujanjaba.

Kitaawe, Mohammed Mbuga asangiddwa mu ddwaaliro e Mulago ategeezezza nti mutabani we teyali mu kwekalakaasa.

Ono agamba nti olukungaana olwaali ku Kuleekaana ng’okutuuka omwana we gyeyali mu Zooni ya Ndikuttamadda obuuka ebyalo bibiri.

Agattako nti, abaserikale bakuba ttiyaggaasi ku luguudo lwa Salaama lwonna ne batuuka ku Ndikuttamadda omwana gyeyali.

Ono alumirizza nti abaserikale ab’ettima bagenze basuula obukebe bwa ttiyaggaasi ku mayumba g’abantu era akakebe kagwa mu nnyumba yaabwe olwakakutteko ne kabwatuka ne kamukuba.

Nnyina, Safinah Nassaka ye agambye nti mutabani we abadde n’ekitone ky’okucanga omupiira wabulanga kirabika kati kyakufumwa.

Kamakya abade asoma S3 ku Good Times SSS e Masajja.

Leave a comment

0.0/5