Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa gavumenti mu disitulikiti ye Mukono Hajjati Fatumah Ndisaba Nabitaka alabudde abavuga zzi ambulance ezirina okutambuza abalwadde ba COVID-19, ate okutandika okutambuza nabafu.
Nabitaka agambye nti kino kimalamu amaanyi mu mbeera eriwo ngabantu batuula mu mmotoka zino ate okugenda mu byalo okuziika, nga tebamaze kuzifuyira ekintu ekigenda okwongera ku kusasana kwobulwadde.
Alagidde abebyokwerinda kino batandike okukirondoola okuzuula abakozesa obubi ambulance zino.