Bya Ndhaye Moses
Abatwala ekibuga Kampala bategezza nga bwewabaddewo okudirira mu miwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe abappya, mu nnaku 3 eziyise.
Bino webijidde ngemiwendo gyabalwadde gibadde waggulu mu gwanga lyobba, mu kabang akayise.
Okusinziira ku amyuka akulira ebyobulamu mu KCCA Dr. Sarah Zalwango abantu 500 bokka bebalwadde abappya befaunye mu nnaku 3 eziyise nga bali wansi wbogerageranya ku bantu 1000 bebaalinga bafuna egwanga bweryali terinagenda mu muggalo.
Ono agambye nti nabasawo bokubyalo, bayite ba Village Health Teams bakoze omulimu gwattendo okussomesa abantu kungeri yokwetangiramu obulwadde
Dr. Sarah Zalwango agambye nti balina essuubi nti waddenga COVID-19 akyaliwo mu Kampala, bagenda kumulinnya ku nfeete.