Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni ategezezza nti wewaawo bakola ku ntekateeka nga gavumenti okukola eddagala erigema ssenyiga omukambwe, bagenda kwongera okwogerezeganya ne gavumenti ya India, China, Cuba ne America abakola eddagala lya Johnson-Johnson okwongera okuleeta eddagala erigema.
Museveni era agambye nti bakwataganye n’omukago gwa African Union nebanamikago abalala, okufuna eddagala eddala erigema.
Agambye nti neddagala lyaffe eryawonyanga ba jajja ffe, agambye nti bagenda kulitekako essitra, okulirongoosa likozesebwe.
Wabula Museveni agambye nti ekyokuddamu ekyenkomeredde eri ekirwadde kya ssenyiga omukambwe kwekugema abantu bonna.
Olunnaku lweggulo, minisitule yebyobulamu yafulumizza ebibalo ku ssenyiga omukambwe ebyava mu kukebera okwakolebwa nga 26 June.
Abalwadde abappya 695 bebafunise, atenga abantu 53 befudde.
Kati awamu Uganda yakafuna abalwadde emitwalo 7 mu 9000 mu 89, yakafiirwa awamu abantu 956, okuva ssenyiga omukambwe lweyayingira egwanga omwaka oguwedde.