Skip to content Skip to footer

Gen Kayihura ali mu kooti asaba kweyimirirwa.

Bya Samuel Ssebuliba

Wetwogerara nga  Gen.Kale Kayihura  mutaka mu kooti y’amajje nga eno gyakedde okumatiza kooti nga bwagwana okukirizibwa yeyimirirwe , waakiri awoze nga ava bweru wa kooti.

Gen. Kayihura sabiiti ewedde yalabikako mu kooti eno kulw’okutaano nasomerwa emisango esatu okuli okulemwa okukuuma eby’okulwanyisa, okuwa abantu abakyamu ebyokulwanyisa, kko n’okuyambako okuwamba banansi ba Rwanda okubazza ewaka.

Kati ono akomyeewo n’ensonga 11 okusobola okumatizza kooti,nga ezimu kuzzo kwekuba nti mulwadde, songa yemuntu yeka alabirira ab’omumakaage

Kati banamateekabwe mukaseera kano bagezaako okulambika ensonga zino mu bujuvu.

Abamu kubasuubirwa okumweyimirira kulika Major Gen James Mugira ne Major Gen Sa Kavuma.

 

Leave a comment

0.0/5