Bya Ivan Ssenabulya
Abayimbi bajjukiziddwa okubeeranga abegendereza ku wa webayimiridde mu nsonga zebyobufuzi okusinziira ku mbeera egenda mu maaso mu gwanga.
Okulabula kukoleddwa omukwanaganya wemirimu mu kibiina ekigatta abayimbi nabategesi bebivvulu Tonny Ssempijja, ngagamba nti kino kyandivirako bangi okugwa mu byokuyimba.
Bino webijidde ngabadigize balabiddwako mu bbaala emu mu Kampala nga bagoba Bebe Cool ku stage, olwobuitawagira Bobi Wine.
Wabula ono agamba nti waliwo nobwetaavu okutabagana mu gwanga okumalawo obunenke.