
Sipiika wa palamenti Jacob Oulanya kyaddaaki akakasizza nga omukulembeze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta bw’agenda okwogerako eri palamenti yawano wiiki eno.
Ku ntandikwa y’omwezi oguwedde, Kenyatta yasazaamu enteekateeka z’okujja kuno kubanga y’ali yetegekera bugenyi bw’omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barak Obama mu ggwanga lye.
Nga ayogerako eri palamenti olwaleero, sipiika Oulanya akakasizza nga Kenyatta bw’ajja okwogerako eri gyebali ku ssaawa 8 ez’emisana ku lwokutaano wiiki eno.
Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri Uhuru okugenyiwalako mu Uganda bukyanga alya obukulembeze bw’eggwanga lya Kenya.
Kenyatta era wakwogeramu ne mukulu munne Yoweri Museveni ku nsonga z’amawanga gombi.