Bya George Emuron .
E Soroti tutegeezedwa nga abakulira edwaliro ekulu bwebagadde egwanika ly’edwaliro nga kino kidiridde firigi enyogoza emirambo okufa kakano emyezi ebiri emabega.
Tutegeezedwa nti firigi eno yeetagisa ensimbi obukadde buna okugidabiriza era nga kakano egimu ku mirambo gibadde gitwalibwa mu district ye Lira ne Mbale okuginyogoza.
Twogedeko n’akulira edwaliro lino Dr Francis Mulwanyi nagamba nti nabo mpaawo kyebayinza kukolera mbeera nga eno, kale nga beetaga ministry yebyobulamu mu bwanngu