Poliisi eweze abesimbyewo ku bukulu bw’abayizi ku ttendekero lye Makerere obutakuba kampeyini wabweru w’ettendekero lino.
Kino kiddiridde abatuuze mu bitundu okuli Wandegeya, Kikoni ,Sir Apollo Kaggwa ne Bwaise n’awalala okwekubira enduulu ku bayizi ababononera ebintu byabwe buli wewabaawo enkungaana z’okunonya akalulu.
Aduumira poliisi ye Wandegeya Jackson Muchunguzi agamba kampeyini era tezirina kusukka ssaawa 1 eyakawungeezi olw’ebyokwerinda.
Abayizi b’ettendekero lino baakulonda abakulira wiiki ejja nga era 11 bebesimbyewo.