Skip to content Skip to footer

Dominic Ongwen ajulidde okuwakanya ekibonerezo ekyamuweebwa

Bya Musasi waffe

Eyali omuyekera wa Lord’s Resistance Army (LRA) commander Dominic Ongwen ajulidde ngawakanya ekibonerezo ekyamuweebwa kooti yensi yonna, the International Criminal Court (ICC).

Kinajjukirwa nga 4 February, Ongwen yasingisbwa emisango 61 egya kalintalo okuli obutemu, okusobya ku bakazi okukak abakazi mu bufumbo nemiralala gyeyazza mu mambuka ga Uganda wakati wa 2003 ne 2004.

Kooti eno oluvanyuma nga 6 May, bamusalira ekibonerezo kyamyaka 25 mu nkomyo.

Ongwen, yayingizibwa obuyekera nga muto, wabula kati aweza emyaka 45.

Chrispus Ayena, nga yakulemberamu bannamateeka ba Ongwen, agambye nti bataddeyo okujulira kwabwe.

Ayena agambye nti balina ensonga zebasimbyeko amannyo, okuwakanya ennamula eno nekibonerzo ekyaweebwa omuntu we.

Leave a comment

0.0/5