Bya Barbra Nalweyiso
Wabaddewo akasattiro ku dwaliro lya gavumenti erya Kassanda Health Centre IV, Omukyala bweyakutuse n’afiira mu lugya lw’edwaliiro lino.
Ono yabadde aletedwa okufuna obujjanjabi ku dwaliro lino oluvanyuma lw’okulwala.
Wabula ono abadde yakatusibwa mu lugya lw’edwaliiro n’akutuka ekiretedde abasigadde okutya, nga baebereza nti abadde mulwadde wa COVID-19.
Omubaka wa gavumenti mu disitulikiti ye Kassanda Phoeb Namulindwa akakasiza bino.