Bya Barbra Nalweyiso
Disitulikiti ye Mityana ekakasizza nga mu nnaku 4 bwewaliwo abantu 2, abafudde COVID-19, nga kuno kuliko neyaliko omusawo wa gavument.
Bino bikakasiddwa amyuka omubaka wa gavumenti e Mityana Ndidde Yassin ngno asinzidde mu lukiiko olwabalwanyisa ssenyga omkambwe nalabula abantu nti kyekiseera abantu okwongera okwekebezza nokwongereza.
Mungeri yeemu RDC agambye nti e Mityana waliwo abasawo abekinaasi abakyagenda mu maaso.
Kino alabudde nti kikyamu era kigenda kugotaanya entekateeka za gavumenti okulwanyisa obulwadde buno.
Mungeri y’emu alabudde ku malwaliro g’obwananyini agatandise okujanajaba n’okukebera COVID-19 nga tegalina lukusa.