Bya Ivan Ssenabulya
Akakiiko ka palamenti akasunsula abalondeddwa omukulembeze we’gwanga, bagaanye okulondebwa kwa Alice Kaboyo, nga minisita wensonga za’Kanyigo ke Luweero oba Luwero Triangle-Rwenzori Region wansi wa wofiisi ya Ssabaminisita we’gwanga.
Kaboyo alabiseeko mu kakiiko, akakakubirizibwa omumyuka wa sipiika Anita Among, wabula bamugobye bwalemereddwa okumatiza ababaka ku kakaiiko kano ku busobozi bwe okuwereza mu kifo ekyo.
Amawulire agomunda okuva munda mu kakiiko kigambibwa nti nebiwandiiko bye biriko akabuuza.
Akakaiiko nolwaleero katudde, mu lunnaku olwokuna nga bakakasa ba minisita abalondeddwa omukulembeze we’gwanga.
Abalala abasubirwa olwaleero kuliko munna FDC Owek. Joyce Ssebugwawo, Gen. David Muhoozi, Margaret Muhanga, Persis Namuganza nga nnabalala bakyasubirwa eggulo lino.