Bya Kyeyune moses.
Ministry ekola ku by’ensimbi eriko ekiwandiiko ekimambwe kyewerezza abadukanya ebibuga ku mutendera gwa town council kko ne n’amagombolola , nga kibalagira okuyimiriza mu project zaabwe nga ensonga ya nsimbi ezitamala.
Ebaluwa evudde ew’omuwandiisi wa ministry eno Keith Muhakanizi eraze nga government bwetalina nsimbi zakudukanya project nga zino, kale nga bagwana balinde okutuusa mu mwaka gwa 2018/19.
Kinajukirwa nti Muhakanizi ono aludde nga awakanya ekya government okumala gatodawo district endala , era nga agamba nti kino kigenda kuvirako ensimbi obutamala.