Bya Ben Jumbe
Poliisi esabye bannyini biffo ebisanyukirwamu, okunyweza ebyokwerinda obutabaawo Muntu yenna gwebayingiza nga tebamaze kumwekebajja obulungi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemriraano, Luke Owoyesigyire agamba tewali kakisa konna kebalina kuwa bamenyi mateeka, oba abandikola obulabe.
Mungeri yeemu ono alabudde aganeda ku mbalama ze nnyanja oba ku beach okugoberera amateeka agatereddwawo, gebalina okunyukirako.
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2015, abantu 13 bebabbira mu mazzi Entebbe ku beach ezenjawulo, mu bijaguzo bya sekukulu.
