Bya Ruth Anderah.
Kooti ejulirirwamu e gobye abadde omubaka we Jinja municipality East Nathan Igeme Nabeta, nga ensonga zakubba kalulu.
Abalamuzi ba kooti eno okubadde Steven Kavuma, Richard Buteera ne Paul Mugamba kati balagidde okulonda kuno kudibwemu.
Abalamuzi bano bagambye nti tebayinza kusinzira ku byava mu kulonda eby’obulimba okulangirira munne ey’amuwawabira Paul Mwiru nga omubaka, kale nga okulonda kwakudibwamu.
Bano banenyeza munaabwe owe Jinja justice Lydia Mugambe olw’okulangirira nga Paul Mwiru bweyali agwana okufuuka omubaaka, kyoka nga tamaze kwetegereza nsonga zonna
Bano tebakomye awo bakyukidde n’akakiiko k’ebyokulonda nga bagamba nti kano kekategeka okulonda okwali kujudde emiwatwa egitagambika.