Amawulire
Ettaka libisse abaana 3
E Kasese ku kyaalo Kabukero miranga oluvanyuma lw’ettaka okubumbulukuka neriziika abaana 3.
Sentebe we ggombolola mu kitundu kino, Stephen Muthekengwa agamba emirambo gy’abaana bano gimaze okuzikulwa.
Enkuba eyafudembye yebumbuludde ettaka eryabisse enyumba abaana bano mwebabadde era nebafiramu.
Guno mulundi gwakusatu nga abaana bafiira mu kubumbulukuka kw’ettaka mu gombolola ye Mahango .
Omwaka oguwedde abantu 4 beebafa ettaka bweryabumbulukuk nga ate mu 2011, abantu 5 baafa mu mbeera yeemu.