Bya Moses Kyeyune.
Olunaku olwaleero akakiiko ka parliament akakasa abalonde ba president lwekatandise okusunsulamu abalamauzi 14 omukulemebeze we gwanga beyakalonda okwegatta ku kooti ejulirirwamu ne kooti enkulu.
Abamu kubalamuzi abagenda mu kooti ejulirirwamu kuliko Justice Christopher Madrama, Justice Stephen Musota, Justice Percy Tuhaise ne Justice Ezekiel Muhanguzi.
Songa ye Paul Gadenya, Joyce Kavuma, Olive Kazaarwe Mukwaya, Alex Ajiji, Tadeo Asiimwe ne Emmanuel Baguma bagenda mu kooti nkulu.
Abalala abagenda mu kooti enkulu kuliko Musa Sekaana, Richard Wabwire, Ms Jane Abodo, ne Ms Cornelia Sabiiti.
Kati bano bagenda kulabikako eri akakiiko akakulirwa speaker wa parliament, Rebecca Kadaga bawayeemu okumala akabanga.