Bya Ritaha Kemigisa
Minister webyensimbi Matia Kasaija ategezeza nti talikko nsimbi za gavumenti enewole zeyabulankanya.
Bino webijidde nga ssababalirizi webitabo bya gavumenti aliko okunonyereza kwaliko ku nsimbi obukadde bwa dollar za America 200 oluvanyuma lwokwemulugunya okuva mu babaka ba palamenti, nga bagala ono nomuwandiisi we owenkalakalira Keith Muhakanizi bajjibwemu obwesige.
Wabula minister Kasaija bwabadde ayogera ne banamwulire agambye nti waddenga waliwo ensobi entono ezakolebwa, mpaawo nsimbi zabula.
Wabula agamba nti yasabye banne ku lukiiko lwabaminista okuyimirira naye waddenga, ebyobufuzi bingi mu palamenti.
Kko akakiiko ka palamenti akalondoola ensasanya yensimbi mu bitongole bya gavumenti, kasazeewo nti Matia Kasaija ajjibwemu obwesige.