Ebyobusuubuzi
Akatale ke Wandegeya kawedde
Akatale ke Wandegeya kaggulwaawo nga munaana omwezi guno
Akatale kano kawemmese obuwumbi 21 era nga kisuubirwa nti kakuyamba abantu abawerako abakozesa enguudo ezikaliraanye
Akulira abakozi mu KCCA, Jennifer Musisi agamba nti buli kimu kiwedde nga ssabiiti ejja bajja kuba bakaggula
Ono agamba nti kati amaanyi bagatadde mu nguudo ezituuka ku katale okulaba nti tewabaawo mugotteko nga zitambuza bulungi emmotoka.