Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kiriko omusajja Muhumuza Simon, gwekikutte ngabaddenga yeyita Commissioner mu kitongole okubba abantu.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku wofiisi zaabwe e Nakawa, omukwanaganya wa URA naba bweru Vincent Seruma agambye nti ono bamulondodde, oluvanyuma lwokwemulugunya mu bantu 15, nga kigambibwa nti abadde yakabba obukadde 5 nomusobyo.
Ono abaddenga asubiza abantu okubafunira emirimu mu URA, nokubayamba okufuna zzi tender.
Omukwate bamutadde mu katego, ngabasaba emirimu kwemutukako nebamukwata.