Bya Ruth Anderah.
Tutegeezeddwa nga omubaka we Mukono Betty Nambooze Bakireke agendeko mu kooti eno abeeko byaddamu munamateeka wa government Mwesigwa Rukutana , kubanga amwesunga.
Tutegeezedwa nti Nambooze ono okusinga agenda kutegeeza kooti kungeri gyeyakubibwamu atuuke n’okumenyeka enkizi nga bwagamba, nga bino byona byaliwo mu kaseera abaserikale webalumbira parliament
Kati Nambooze asabiddwa okujja n’ebiwandiko kweyafunirako obujanjabi , nga agaseeko n’ebyo kwazze ajanjabirwa okumala emyaka 8 emabega.
Kati Nambooze asubirwa okugenda e Mbale April 17th sabiiti ejja.
