Skip to content Skip to footer

Omusajja eyakuba nnyina avunaniddwa

Bya Ruth Anderah

Ekifananyi: Kijiddwa mu bikadde

Omusajja owemyaka 23 avunaniddwa noluvanyuma nasindikibwa ku alimanda e Luzira olwokukuba maama we amuzaliira ddala, namutusaako nobuvune.

Nuwagaba Bright omutuuze mu Mulimira zone e Bukoto mu division ye Nakawa mu Kampala asimbiddwa mu kooti ya City Hall ewomulamuzi Patrick Talisuna, emisango nagyegaana.

Grace Namuli maama womuvunanwa, abadde akulukusa amaziga akalambidde mutabani we obutamuyimbula.

Agambye nti yamukuba nga December 24th 2017 mu maka gaabwe e Bukoto.

Maama alaze kooti obuvune, ngategezeza nti omutabani yamukubisa ffumu, namulekera enkovu ebitagambika.

Namuli agambye nti yali asoose kulowooza nti omwana we yagudddemu, tembo namutwala mu dwaliro e Butabika gyebamukebera nebakakasa nti mulamu.

Omusango gwongezeddwayo okutuuka nga April 24th lwanakomezebwawo omusango gwe guddemu okuwlirwa.

Leave a comment

0.0/5