Emizannyo
Palamenti esiimye banabyamizanyo abaawangula emidaali.
Bya Kyeyune moses
Olunaku olwaleero Parliament esiimye banabyamizanyo ba Uganda abagenda okukiika mu mpaKa z’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza okukakana nga batuweesezza ekitiibwa.
Bano webaviirideyo nga omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni yakamala okukyaza bano e Ntebe naasiima kyebaakolera egwanga.
Ekiteeso ekisiima bano kireteddwa omubaka we Ajuri Hamson Obua nekisembebwa omubaka we Bukedea Annita Among.
Mukwogera omubaka Obua agambye nti eby’emizanyo mu Uganda biraga esuubi, kale nga government egwanga kubyongeramu maanyi okusobola okutinta.