Kyeyune Moses
Waliwo ababaka ba parliament abatadde minister akola ku nsonga z’omunda mu gwanga kuninga Gen Jeje Odongo ku ninga nga ono baagala abanyonyole lwaki obumenyi bw’amateeka bweyongera bweyongezi mu gwanga
Kuno okwemulugunya kuleeteddwa ababaka okubadde owe Ishaka Gordon Arinda, ow’eBusia Municipality Godfrey Macho n’owe Buhweju Francis Mwijukye , nga bagamba nti bannayuganda battibwa buli kaseera, kale nga baagala omukulu ono abeeko ky’anyonyola.
Bano okusinga beesibye nyo kukuwamba abantu okweyongedde, nga neyakasembayo okukuba abantu enkyukwe ye mwana eyawambibwa e Mbarara kyoka abaamuwamba nebamala nebamutta.