Amawulire
Ababundabunda baakugemebwa ekirwadde kya kolera.
Bya samuel sebuliba.
Gavumenti ya uganda etegeezeza nga bwegenda okutandika okugema abantu be Hoima abakoseddwa ekirwadde kya Cholera nga bano okusiga bebabundabunda.
Okugema kuno kugenda kugassa abantu abasuka mu mitwalo 36 mubifo 6 okuli Kyangwali, Kigorobya Kabwoya egombolola ye Buseruka , Town council ye kigolobya, kko nenkambi yababundabunda eye Kyangwali refugee settlement.
Dr Yonas Tegegn nga ono y’akulire ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’obulamu mu uganda agamba nti okugema kuno kwakugasa abaana okuva ku mwaka gumu n’okudda waggulu, olwo bagateko n’abakyala naddala abali e mbuto.
Okugema kuno kugenda kubeera kwamirundi ebiri , nga olugema olusooka kwakutandika nga 2 May 2018 kukomekerezebwe nga 6 May ate okwokubiri kutandike nga 6th okutuuka 10th June.