Amawulire

Okuzimba ebibangirizi by’abannamakolero sibyakuyamba.

Ivan Ssenabulya

May 21st, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.

Banabyanfuna bakolokose entekkateeka za government ez’okuzimba ebibangirizi by’abanamakolero ebirara okwetoloola egwannga lyonna.

Bino bigidde mukaseera nga government eyagala kuzimba ebifo ebiwerere dala 22 ng’omu kukaweefube owokusitula eby’amakolero mu gwanga

Twogedeko ne Dr Fred Muhumuza nga  ono mukugu mu by’enfuna n’agamba nti bamusiga nsimbi tebeetaga bibangirizi by’amakolero byokka, wabula beetaga embeera enungi gyebayinza okukolerelamu emirimo gyabwe.

Ono agamba nti singa bamusiga nsimbi balemwa okufuna gyebatunda ebintu byabwe,tebayinza kubandaala mu uganda nebwemubaamu ebibangorizi byabanamakolero ebyamaanyi.