Ebyobulamu

Lunaku lwa kulaba

Ali Mivule

October 10th, 2013

No comments

world sight day

Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okulaba

Olunaku luno lwassibwaawo okussa essira n’okujjukiza abantu ku bizibu ebiyinza okuviirako omuntu obutalaba

Muno mwemuli endwadde ezikwata amaaso negafa naye nga zisobola okwewalibwa

Abakugu mu nsonga z’amaaso bagamba nti okulya obubi oba okulya ebitali bituufu kyekimu ku  bivaako abantu okuziba amaaso

Dr Vincent Karuhanga okuva ku ddwaliro lya Friends poly clinic agamba nti mu baana ekisinga okuvaako amaaso okuva beebakyala okumala galya ebintu nga bali embuto

Dr Karuhanga agamba nti buli muzadde lw’alya ekibumba ng’ali lubuto kikosa amaaso g’omwana era ng’abazdde balina okwettanira ennyo emmere erimu ekirungo kya Vitamin A.

Ono asabye abakyala era bulijjo okutwaala abaana baabwe okubagemesa okubatangira endwadde eziyinz aokwewalibwa

Amawulire agva mu ddwlairo ekkulu e Mulago galaga nti abaana 20 beebatwalibwa e Mulago nga balwadde amaaso nga guno omuwendo munene nnyo ogwetaaga okuddukirira