Bya Ndaye Moses.
Waliwo okunonyereza okukoleddwa ekitongole ekikola ku by’emiwendo ekya Uganda Bureau of statis nga eno eraze nga abakyala ebitundu 68% bwebali mubufumbo obubanyiga, wabula nga ekibasigazzayo kukuuma baana baabwe.
Bano bagamba nti abakyala bebaabuza bagamba nti mubufumbo bwabwe batudde kumpiso, wabula nga batya ekitiibwa ky’amaka gaabwe okuyiika, songa abalala balinda baana baabwe bakule balyoke baduke.
Twogedeko n’amyuka akulira ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku bakyala Anna Mutavati nagamba nti singa abakyala bafuna ku kasimbi embeera ejakukakana.