Bya Malikih Fahad
Poliisi ye Kalisizo eriko taata Kaggwa ensonyi gwegalidde, bweyakidde muwala we gwazaala namutuuza ku kujjulo kya sitaani.
Omukwate wa myaka 38, nga mutuuze ku kyalo Nsambya mu ggombolola ye Kalisizo mu district ye Kyotera nga kigwambibwa yegadanze ne kawaala ke akemyaka 11.
Okusinziira ku Patrick Kabuye, ssentebbe we ggombolola ye Kinkumu, ono yakozesazza embeera okuba nti omukazi yanoba.
Yudaya Mugoya, atwala poliisi ye Kalisizo ategezeza nti bagenda kutwala omwana mu ddwaliro okukaksa obanga teyamusiize ssiriimu.
Mugoya agambye nti okunonyereza kutandise, ngomusajja ono wakuggulwako gwa kusobya ku atanetuuka.