Skip to content Skip to footer

Katemba mu palamenti, Ssewanyana ajidde mu ovulo

Bya Kyeyune Moses

Katemba alabikidde mu palamenti, abababka bwebatanudde okwerumiriza okwambala obubi.

Omubaka owamasekati ga Kampala Mohammad Nsereko alumbye omubaka wa munispaali eye Arua Ibrahim okweyambali atyo, mu kyenvu songa wa kitiibwa.

Wabula Speaker ategezeza nti enyambala ya Abriga eya Kawunda ekriizibwa, omubaka wa Makindye West Allan Sewanyana gyawamattuse mu ovulo.

Rebecca Kadaga alagidde Sewanyana agende wabweru nalagira nababaka ababadde bataddeko enkofiira emyufu okuzijjako mangu, nti tajja kukiriza ffujjo.

Wano alagidde nabasirikale ku palamenti okuteeka amannya ku byambalo byabwe era amnnya gasindikibwe mu wofiis ye.

Alagidde nabyokwerinda okwamuka eksiinge eomutesezebwa.

Obunkenke buno buvudde ku kuba nti alipoota yakakiiko ka palamenti akamateeka ku bbago lyokujja ekkomo ku myaka essubirwa okwanjulwa.

Leave a comment

0.0/5