Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu mu Kampala etaddewo olwenkya okuwuliriza okusaba okwatekeddwayo ebibiina ebivuganya gavumenti nga bagala kooti eyimirize palamenti obutagenda mu maaso okuteesa kubye nnongosereza mu ssemateeka.
Omumuyuka wowandiisi wa kooti Joy Kabagye yataddewo essaawa 8 olwenkya.
Olunnaku olwe ggulo ebibiina ebivuganya gavumenti 3 okwabadde Dr. Abed Bwanika owa PDP, Asuman Basalirwa owa JEEMA ne John Ken Lukyamuzi owa CP bagala wabeewo akalulu akekikungo.
Bano bagamba nti mu kalulu kekikungo mwokka okusalaow kwabantu ku nsonga wekuyinza okuwulirwa.