Bya Ritah Kemigisa.
Police ekoze enkyukakyuka mu basajja baayo okukakananga abadde aduumira police ye Arua Abas Ssenyonjo akyusiddwa natwalibwa e Masaka, ate Henry Kintu abade e Masaka n’atwalibwa mu Arua.
Ekiwandiiko kyetwakafuna okuva ku police kiraga nga bano bwebatekeddwa okutandikirawo okukola emirimo gyabwe mubifo ebipya.
Mpaawo nsonga yamaanyi ewereddwa nga eviirideko enkyukakyuka zino.