Skip to content Skip to footer

Gavumenti erabudde bannayuganda abali ku mawanga.

Bya samuel ssebuliba.

Government ya Uganda erabudde bannayuganda  abali ku Mawanga okwewala okukozesa emikutu gy’amawulire naddala egya social media okuwereza obubaka obukuma omuliro mu bantu.

Kino kidiridde okukwatibwa kwa Kato Kajumbi  omu kubakulembeze ba UNNA nga kigambibwa nti ono  yalabikira mu kwekalakaasa okwali mu Boston ku by’okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi, kale bweyadda mu Uganda naakwatibwa ku kisaawe e Ntebe.

Kati bwabadde ayogerera mu lukungana lwa UNNA olugenda mu maaso mu Seattle- America, Nampala wa government Ruth Nankabirwa  agambye nti enkola eno egenze yeyongera, kyoka nga kino kiyinzza okugootanya ebyokwerinda bye gwanga.

Ono nga tanayogera bino Frank Musisi nga ono munnayuganda akola mumajje ga America yeyasoose okulaga okutya nga agamba nti eri mawanga gyebawangalira baddembe okwekalakaasa nga bwebaagadde, kale nga bagenda kutandika kutya okudda ewaka, singa government etandika okubayigga.

Leave a comment

0.0/5