Bya Ben Jumbe.
Minisitule ekola ku by’obulamu etongozezza phase eyokubiri ey’edagala erigema ekirwadde kya Cholera nga lino litandikidde mu kitundu kye Parombo mu Nebbi District.
Bwabadde atongoza edagala lino minisita akola ku by’obulamu Dr. Jane Ruth Aceng agambye nti dosi y’edagala lino yakutekebwanga mu kamwa era nga litandikira ku baana abasusizza omwaka okusobola okubatangira okukwatibwa ekirwadde kino.
Edagala lino ligenda kuba liweebwa omuntu emirundi ebiri ,oluvanyuma lwa sabiiti biri era nga omuntu yenna alikozesezza abeera yetangidde ekirwadde kino okumala emyaka etaano.
Minisita agamba nti okugaba eragala lino kutandikidde mu distict 11 ewasinga okubera omutawaana .
Phase eyasooma yali Hoima nga eno abantu 360,000 baagemebwa songa bwebanaava awo bagende e Nebbi, Pakwach, Buliisa ne Zombo gyebagenda okugemera abantu 615,000 .