Ebyobusuubuzi
Uganda essuubi eritade ku bamusiga nsimbi.
Bya Samuel Ssebuliba.
Minisitule ekola ku by’ensimbi etegeezeza nga bwegenda okwesiba enyo ku by’okuleeta bamusiga nsimbi wano mu gwanga, nga kaweefube ow’okusitula eby’enfuna bye gwanga.
Mukaseera kano Uganda yekyakize okukunganya omusolo omutono bwogerageranya n’ebyenfuna byayo mu mawanga ga East Africa gonna, nga kaakano uganda eri ku bitundu 14.2%, songa Rwanda ekyakize eri kubitundu 16%.
Bwabadde ayogerera mu tabamiruka w’okukuba tooki mu ngereka y’omusolo mu gwanga , minister akola ku by’ensimbi David Bahati agambye nti mubuli kyebakola kati bafaayo okulaba nga bamusiga nsimbi beyongera mu gwanga, olwo eby’enfuna bisobole okwetengerera.
Ono agambye nti kyebasinga okwagala kwekulaba nga bamusiga nsimbi bamanya omusolo gwebalina okusasula mubudde nga bukyali.
Wabula ono agamba nti government eyagala wegubnak0nera omwaka 2022-2023 nga ebyenfuna bye gwanga bwewanirira n’ebitundu 84%.