Bya Sadat Mbogo
Police mu district y’e Mpigi etandise okunonyereza ku bantu abatwalidde amateeka mu ngalo nebakuba ababbi emiggo n’amayinja noluvanyuma nebatekera emotoka gyebabadde batambuliramu kika kya Toyota Premio number UAL 300T omuliro yonna nesanawo.
Ababbi bano ababadde abataano bazingiziddwa ku kyalo Lwamikoma mu ggombolola y’e Kituntu nga bamenya amaduuka n’amayumba g’abatuuze nebakubibwa byansusso era police y’eyabataasizza obutattibwa.
Kansala w’eggombolola y’e Kituntu ku lukiiko lwa district, Godfrey Nalima ategeezezza nti obubbi obulemedde mu kitundu kino buva ku baana b’okukyalo abakwatagana n’ababbi okuva e Kampala olwo nebatigomya ebyalo.
Ababbi batwaliddwa mu ddwaliro e Nkozi okuweebwa obujjanjabi ku mpingu gyebanajjibwa bavunaanibwe mu kkooti.